Job 38

Mukama Ayogera

1 a Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,

2 b“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
n’ebigambo ebitaliimu magezi?
3 cYambala ebyambalo byo ng’omusajja,
mbeeko bye nkubuuza
naawe onziremu.

4 d“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
Mbuulira bw’oba otegeera.
5 eAni eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
Oba ani eyagipima n’olukoba?
6 fEntobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
8 gani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
bwe yava mu lubuto lwayo?

9“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 hbwe n’abiteekerawo we bikoma
ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 ibwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?

12“Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13 jeryoke ekwate ensi w’ekoma
eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15 kAbakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.

16 l“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
17 mWali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
18 nWali otegedde obugazi bw’ensi?
Byogere, oba bino byonna obimanyi.

19“Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 oDdala, osobola okubitwala gye bibeera?
Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 pDdala oteekwa okuba ng’obimanyi,
kubanga wali wazaalibwa dda!

22 q“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 rBye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 sAni akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 tAni atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
eddungu omutali muntu yenna,
27 un’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
n’okulimezaako omuddo?
28 vEnkuba erina kitaawe waayo?
Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 wOmuzira guva mu lubuto lw’ani?
Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 xamazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?

31 y“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 zOmanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?

34 aa“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 abGgwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 acAni eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37Ani alina amagezi agabala ebire?
Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
era amafunfugu ne geegattira ddala?

39 ad“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,
oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,
40 aebwe zeezinga mu mpuku zaazo,
oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
41 afAni awa namuŋŋoona emmere,
abaana baayo bwe bakaabirira Katonda,
nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”
Copyright information for LugEEEE